1 Chronicles 20:1-3

Labba Kiwambibwa

1 aAwo mu biro, bakabaka mwe bagenderanga okulwana, Yowaabu n’akulembera eggye, n’azisa ensi y’abaana ba Amoni, ate era n’azingiza Labba. Naye Dawudi ye n’asigala mu Yerusaalemi, Yowaabu ye n’alumba Labba, n’akizikiriza. 2Awo Dawudi n’addira engule eyali eya kabaka waabwe, obuzito bwayo kilo asatu mu nnya eza zaabu, nga mu yo baateekamu amayinja ag’omuwendo, n’agitikka ku mutwe. N’atwala n’omunyago mungi ddala okuva mu kibuga ekyo. 3 bYatwala abantu abaali mu kibuga ekyo n’abawa emirimu nga bakozesa n’emisumeeno, n’ensuuluulu, n’embazzi. Bw’atyo Dawudi bwe yakola ebibuga byonna eby’abaana ba Amoni, oluvannyuma ye n’eggye lye lyonna ne baddayo e Yerusaalemi.

Copyright information for LugEEEE